Amawulire

TASO teggalawo

Ali Mivule

September 18th, 2014

No comments

TASO

Ekibiina ekibudabuuda n’okujanjaba abantu abawangaala ne mukenenya  ekya TASO kigumizza abajanjabibwa yo nga bwebatagenda  kuggalawo .

Kiddiridde amawulire agafulumye olwaleero nga galaga nti aba TASO bagenda kuggalwaawo olw’ebbula ly’ensimbi oluvanyuma lw’abagabirizi b’obuyambi okubijjamue nta.

Omwogezi w’ekibiina kino Megan Katasi agamba yadde nga ensimbi okuva mu bagabi b’obuyambi zakendeera, bakyajanjaba abalina siriimu n’okusomesa abo  abatalina siriimu engeri y’okwekuumamu.

Agamba olw’ebbula ly’ensimbi pulojekiti ezimu baazigala naye ssi TASO.

Katasi agamba kati bakozesa nsimbi zebalina okusobozesa emirimu okutambula.

TASO emaze emyaka 27 ng’eri mu lutalo ku mukenenya