Amawulire

Taata w’omubaka Ssekikubo afudde

Ali Mivule

May 30th, 2014

No comments

 Ssekikubo new

Wabaluseewo olutalo ku wa ew’okuziika taata w’omubaka Theodore Ssekikubo afudde olunaku lwaleero

Sam Mwagalwa afudde enkya ya leero oluvanyuma lw’okukubwa puleesa

Okusinziira ku mubaka Theodore Sekikubo , obuziby buvudde ku wa omugenzi gy’alina okuziikibwa ng’abamu bagaala aziikibwe Kangavve SSemuto ate abalala bawakanya eky’okumujja e Lwemiyaga.

Abatuuze be Lwemiyaga balumiriza nti muzeeyi Mwagalwa Muntu waabwe gwebaludde nga balaba era nga tebasobola kumubajjako

Wabula yye omubaka ssekikubo agamba nti olukiiko lw’ekika lutudde okulaba nti basalawo ku nsonga eno.

Omugenzi alese abaana 25 n’abazzukulu