Amawulire

Taata asangibwa  yerigomba ne Muka Mutabaniwe

Taata asangibwa yerigomba ne Muka Mutabaniwe

Ivan Ssenabulya

February 20th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omusajja atemera mu gyóbukulu 52 awonedde watono okugajambulwa abatuuze ababadde batamye obugo oluvanyuma lwókumusanga lubona nga yerigomba ne muka mutabaniwe.

Bino bibadde ku kyalo Nakawoizaa mugombolola ye Buyanga mu disitulikiti eyé Bugweri

Ono atasiddwa ssentebe wékitundu Tibiita Kitaita, anyonyodde nti ssemaka asangibwa mu kikolwa ne mukazi wa mutabaniwe.

Ono bamusikasikanye okumugya munju nga ali bute, abatuuze ne batandika okumukuba, wabula ssentebe amutasiza namukwasa poliisi abeeko byanyonyola.