Amawulire

Taata afiiridde mu kirombe kya Zaabu, abaanabe babiri nabo batusibwako obuvune

Taata afiiridde mu kirombe kya Zaabu, abaanabe babiri nabo batusibwako obuvune

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2023

No comments

Bya Asuman Musobya,

Aba Famire basatu okuli taata n’abaana be babiri babutikiddwa ettaka mu kilombe kya Zaabu, taata afiiridewo ate abaana basimatukidde ku bisago ebyamaanyi.

Bino bibadde ku kyalo Budde ekisangibwa mu gombolola ye Budhaaya mu disitulikiti y’e Bugiri.

Hamza Kyozira emyaka 50 yafudde ate abaana ababiri abakosebwa kuliko Dhatemwa Ashraf ow’emyaka 14 omuyizi mu kibiina eky’omukaaga ne Waiswa Kasim emyaka 16 omuyizi mu kibiina eky’omusanvu kusomero rya Kiwandangabo primary school.

Abaana batwalibwa mu ddwaliro e Bugiri nga bali mu mbeera mbi.

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Bugiri, Henry Kabulo alaze obweraliikirivu n’alabula abazadde obutasindika baana baabwe mu mirimu egiyinza okubakosa.