Amawulire
Taata abadde yetta oluvanyuma lwokutta omutabani
Bya Juliet Nalwoga
Waliwo omusajja wa myaka 27 ali ku kisituliro, mu ddwaliro wakati mu bukuumi bwa poliisi bweyasse mutabani we owomwaka 1 nekitundu naye nagezaako okwetta.
Winston Nabireba omusazi wenviiri mu Soweto wano e Namuwongo, mu division ye Makidye mu Kampala yakwatiddwa oluvanyuma lwabatuuze okulaya enduulu, bweyabadde agezaako okwesala obulago.
Omumyuka womwogezi wa poliisi mu gwanga Polly Namaye agambye nti ono baasobodde okumukwata,nebamujjako nekissi ekyambe kyeyabadde akozesa nga bakikwasizza abakugu okukyekebejja nokukebera ndaga buttoned mu musaayo ogwasangiddwako.
Poliisi egamba nti baakumukuuma okutuusa lwanawona, avunanibwe mu mateeka emisango gyobutemu.