Amawulire

T.V satu e kenya ziggadwa- Raila Odinga alayila leero.

Ivan Ssenabulya

January 30th, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba.

Mu gwanga lya Kenyaa ab’obuyinza bataamye okukakana nga baliko TV satu  zebagye ku mpewo nga zino baziranze  kwesiba ku kyakulaga butereevu ebigenda mu maaso kukulayira kwa Raila Odinga n’omumyukawe Kalonzo Musyoka.

TV eziigaddwa kuliko NTV- Kenya , Citizen  ne Inoro TVs, wabula nga abazikulira batubuulide nti tebamaze nakufuna kulabula kwonna

Gyebuvudeko waliwo ekiwandiiko ekivuddde mu bakulira abasunsuzi b’amawulire mu Kenya nga kivumirira ebigenda mu maaso, nadala nga bikolebwa ekibiina ekya jubilee ekiri mu buyinza.

Linus Kaikai  nga ono ye ssentebe wekibiina kino agamba nti enkola eno eyokulemesa banamawulire okwetaaya efuuse yabuli kaseera mu gwanga lino , wabula nga kirina okukoma

Mukaseera kano abawagizi b’omukago gwa NASA baakyagenda mu maaso okweyiwa mu  Uhuru Park  nga betegekera okulayira kwa Raila Odinga nga president w’abantu

 

///////////