Amawulire

Sultan we Sokoto atuuse

Sultan we Sokoto atuuse

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa ne Prosy Kisakye

Sultan we Sokoto mu gwanga lya Nigeria Muhamadh Abubakar 111, kati mutaka mu Buganda.

Ono atuukidde ku kisaawe Entebbe ngalinnye ku ttaka lya Buganda, mu kiro ekikesezza olwaleero nayanirizibwa Kattikiro nabakungu abalala mu bwakabaka.

Mu kusooka ono abakungu be batuuse kuno olunnaku lwe ggulo, era wabaddewo okubaganya ebirowoozo kungeri yokutumbulamu embeera zabantu naddala omwana omuwala n’abakyala.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yababuliidde ku byafaayo bya Buganda.

Ate Maama Nnabagereka yasomesezza ku nteekateeka z’ekisaakaate n’engeri gyekikyusizza endowooza z’abaana nebafuuka ab’obuvunaanyizibwa.

Mungeri yeemu poliisi efulumiza entambula yebidduka enagobererwa ku ku ku mikolo gyamattikira ga Ssabasajja agemyaka 26, egigenda okukwatibwa olunnaku lwenkya.

Emikolo gino igenda kukwatibwa mu ssza lya Ssabasajja erye Busiro, ku ttendekero lya Nkumba University e Entebbe.

Okusinzira ku mudumizi wa poliisi yebidduka mu Kampala nemiriraano, Norman Musinga amakubbo gonna agagenda e Nkumba gakusalwako, ab’okutambuza ebigere bonna bakukozesa ekkubo lye Kasenyi nga waliwo omulyango ogubateredwawo.

Ate abagenyi abakulu baakusimba mmotoka zaabwe ku ssomero lya Nkumba P/S neku kanisa ya St. Apollo Kivebulaaya.

Kati Musinga alabudde aba abodaboda obutesembereza waliwo mikolo era nobutasalinkiriza.