Amawulire

Ssewungu mmotoka w’akujitekamu embizzi

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses ne Ivan Ssenabulya

Abantu bangi bakyayogera kuno na kuli, ku kiragiro kyomukulembeze we gwanga okugulira babaka mmotoka ezitayitamu masasai nokubaw aobukuumi.

Bbo ababaka abamu bakiwagira atenga abalala bakiwakanya ne ssekuwakanya yenna.

Ababaka okuli owa Kalungu West Joseph Sewungu, owekibiina kya Democratic Party ayaniriza ekiragiro kyomukulembeze we gwanga wabula, agamba nti yye teyetaaga bakuumi.

Ono gyamalidde ngentekateeka ajijunguludde, ngagambye nti mmotoka bwenajimuwa wakujiteka.

Ate abamu ku bakulembeze mu district ye Mukono bogedde ku kyokugulira ababaka mmotoka nokubawa obukuumi.

Omukulembeze we gwanga yawanadikidde ministry yebyensimbi okugulira ababaka mmotoka, wakati mu bunkenke obutabatusaako bulabe.

Towgeddeko nabamu ku bakulembeze mu munsipaali ye Mukono okuli ba kansala wabulanga bagamba nti kuno kunaba kudubuuda nsimbi yomuwi womusolo.

Balabudde neku kalipagano kwebidukka akanabalukawo mu Kibuga nemu bitundu ebyetoloddewo.