Amawulire

Ssewanyana aguddwako emisango emirala, Ssegiriinya bazeemu okumukwata

Ssewanyana aguddwako emisango emirala, Ssegiriinya bazeemu okumukwata

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana aguddwako emisango emirala, egyobutemu omugatte awezezza emisango 7 ejimuvunanibwa.

Kino kibikuddwa munnamateeka we Erias Lukwago.

Lukwago yayise ku twitter nategeeza nga bweyasobodde okwogera n’omubaka Ssewanyana ku SIU e Kireka wagaliddwa oluvanyuma lwokuddamu okukwatibwa bweyali yakayimbulwa mu kkomera lye Kigo wiiki ewedde.

Agambye nti omubaka Ssewanyana ebimuvunanibwa ebirala, nga 4 August 2021 gavumenti egamba nti yatta Joseph Bwanika owe Kisekka B mu muluka gwe Kankamba mu disitulikiti ye Lwengo.

Olunnaku lweggulo mukyala womubaka Ssewanyana ne banamateeka be, bataddeyo okusaba mu kooti ekake, abakuuma ddembe okuyimbula omuntu we.

Ssewanyana kati awamu avunanibwa emisango okuli obutemu, okugezaako okutemula, obutujju nokuwagira ebikolwa byobutujju.

Mungeri yeemu nomubaka wa Kawempe North, Muhammed Ssegirinya yazeemu nakwatibwa amangu ddala bweyabadde yakayimbulwa okuva mu kkomera.

Ono naye baamukutte ku misango emiralal egyokukuma omuliro mu bantu.

Ate ebitongole byebyokwerinda bisabiddwa okuyitanga abamu ku bateberezebwa okubeera abamenyi bamateeka, beyanjule gyebali mu kifo kyokubakwtanga mungeri etali nnungi.

Kino kyadiridde ababaka okuli owa Makindye West Allan Sssewanyana ne Muhamadh Ssegirinya owa Kawempe North, abazeemu okukwatibwa nga bayimbulwa.

Okusinziira ku munnamateeka, omubaka omukyala owamasekati ga Kampala Shamim Malende agambye nti okuyita omuntu kiri mu mateeka okweyanjula eri abakuuma ddembe.

Malende era asabye nti nokunonyereza ku misango kwetaaga okukolebwa n’obwangu.