Amawulire

Ssentebe afudde ekibwatukira

Ssentebe afudde ekibwatukira

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Entiisa ebutikidde abatuuze mu division ye Goma e Mukono, ssentebe wabavubuka mu muluka gwe Nantabulirwa Agnes Babirye owemyaka 29 abadde yakalondebwa ku kaadi ya NRM bwafudde ekibwatukira.

Kitegezeddwa nti ono aumbiddwa omutwe ogwamaanyi, nga gwegumuviriddeko okufa.

Omugenzi era yabadde ssentebe wabavubuka ku kyalo Kiwanga e Kasokoso, nga mu kiseera kyekimu yabadde omuwanika wa SACCO yabavubuka (Mukono Youth SAACO).

Okusinzira ku Jimmy Lugolobi, abadde mukwano gwomugenzi Babirye abadde mukozi, atenga ayagaliza.