Amawulire

Ssentebbe we ggombolola bagala kumujjamu bwesige

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2018

No comments

Bya Mgembe Sabiiti

Bakansala be gombolola ye Manyogaseka e Mubende bawadeyo ekiwandiiko ekijamu ssentebe waabwe Tandeka Jotham obwesige eri speaker wa district nga bamulanga kweyambisa bubi wofiisi ye.

Ba kansala nga bakulembedwamu Nuwagaba Godon bawaddeyo ekiwandiiko kino ekiteredwako emikono gyabakansala 18 kwabo 20 abakiika mu councial eri amyuuka speaker Ninsiima Edidah.

Mu kiwandiiko kino bakansala balumiriza ssentebe okwenyigira mu kutunda ettaka lyabwe eriwera square mile 26 eri omusumba Samuel Kakande mu bukyamu.