Amawulire

Ssematimba bamuli bubi

Ali Mivule

April 9th, 2014

No comments

Sematimba

Munna NRM Peter Ssematimba akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwa butaba na buyigirize bumala kwesimbawo ku bwa meeya

Omu ku beyesimbawo naye mu kamyuufu ka NRM Mohammed Kasule y’amuwawaabidde

Ono agamba nti Ssematimba empappula z’alina tezitegerekeka kyokka nga nebw’ozigatta zonna zivaamu diploma ate nga nayo tetegerekeka

Ono era agamba nti ekibiina kyamumma ebyaali bivudde mu bifo byonna ebirondebwaamu

Kasule ayagala kkooti enkulu erangirire nti Ssematimba talina bisanyizo bya buyigirize kwesimbawo.