Amawulire

ssemaka bamusanze atemuddwa

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo

Poliisi e Mityana etandise okunonyereza ku nfa ya Joseph Kakooza owemyaka 27 ku kyalo Tikalu Kiterede mu gomboola ye Kalangaalo.

Kigambibwa nti omugenzi asangiddwa ku kitanda kye ne mukyala we nomwana waabwe omutto nga bamusazesaze ngembuzi, nga wakyaliwo okubusabuusa ku nfa ye.

Okusinziira ku batuuze mukyala womugenzi Harriet Nakate amakya ga leero addukidde ewa ssentebbe we kyalo, nategeeza nga bwebayingiriddwa ababbi, wabula yye omukyala ono tasangiddwako yadde akasaayi akamutonyedde.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu byaWamala Norbert Ochom ateghezeza nti omukyala akwatiddwa yanayambako mu kunonyereza.