Amawulire

Ssekiboobo yekubidde enduulu kunsonga zéttaka

Ssekiboobo yekubidde enduulu kunsonga zéttaka

Ivan Ssenabulya

March 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Omwami wa Kabaka mu ssaza lye Kyaggwe Elijah Bogere Lubanga ali mu kattu oluvanyuma lw’abakulembeze ku mitendera egyawansi okwekobana ne batunda ettaka lya Ssabasajja.

Bino webijidde ngettaka lye’Kitawuluuzi ku kyalo Kasana ka Musisi mu gomboloola ye Kasawo mu district ye Mukono, lyabaluseeko enkayana.

Ssekiboobo agambye nti yekubidde enduulu emirundi mingi mu bakamaabe, okuyita mu kitongole kya Buganda Land Board ku Robert Lusambya atunda buli kifo awali ekitawuluzi.

Ategezezza nti amagezi gamwesibye.

Wabula Robert Lusambya ayogerwako agambye nti musubuzi wattaaka, ngaba Buganda Land Board bamumanyi bulungi.