Amawulire

Ssejusa adda mu kkooti

Ali Mivule

February 2nd, 2016

No comments

Eyali omukwanaganya w’ebitongole ebikessi General David Ssejjusa mu kiseera kino nga ali mu kaduukulu k’amagye asuubirwa okutwalibwa mu kkooti y’amaGgye agulweko emisango egyenjawulo.

 

Sejusa y’akwatibwa ku sande nga omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo y’ategeeza nga ono bweyayogera ebigambo by’obusagwa nga ate akyali mu magye.

 

Munnamagye ono yakwatibw aokuva mu makage e Naguru n’atwalibwa mu nkambi y’amagye e Makindye gy’akyali nakati.

 

Kati munnamateeka wa Sejjusa David Mushabe agamba abantu tebasanye kutebereza misango gimugulwako balinde amagye olwaleero gaveeyo gategeze abantu emisango egimuvunaanwa.