Amawulire

Ssegirinya ne Ssewanyana beyanjudde ku poliisi e Masaka

Ssegirinya ne Ssewanyana beyanjudde ku poliisi e Masaka

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Ababaka ba palamenti, Allan Ssewanyana ne Ssegirinya, ekitongole kya poliisi ekinonyereza ku buzzi bw’emisango e Masaka batandise okubabuuza kajojji-jjoji w’ebibuuzo.

Bano baayitiddwa okubaako byebanukula, ku bigambibwanti balina kyebamanyi ku butemu bwebijambiya obuzze mu bitundu bye Masaka.

Ababaka bano batuusiddwa ku poliisi e Masaka wakati mu bukuumi obwamaanyi ku saawa 6 ez’emisana.

Bano babadde bawerekeddwako akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga Nsamba, nababaka abalala okubadde Francis Zaake, Joyce Bagala, Francis Katabaazi, Lord meeya wa Kampala Erias Lukwago, Shamim Malende n’abalala.

Mu kiseera kino, bali munda ku kitebe kya poliisi e Masaka wabulanga eno bannamwulite tebakirizddwayo.