Amawulire

Ssegirinya ne Ssewanyana bazeeyo ku alimanda mukomera e Kigo

Ssegirinya ne Ssewanyana bazeeyo ku alimanda mukomera e Kigo

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2021

No comments

Bya Malik Fahad,

Omubaka wa Makindye West mu palamenti Allan Ssewanyana ne munne owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya basimbidwa mu kkooti olunaku lwa leero ne bavunanibwa emisango emigya era ne basindikibwa mu komera e Kigo.

Bano basimbiddwa mu maaso gomulamuzi, Charles Yeteise owa kkooti enkulu e Masaka nabagulako omusango gwokutta Joseph Bwanika.

Oludda oluwaabi lugamba nti Ssegirinya ne Ssewanyana bavaako okufa kwa Bwanika,eyali omutuuze we Kisekka B, Kankamba parish mu Lwengo nga August 2, 2021.

Bano tebakkiriziddwa kubaako kyebogera ku misango egibagudwako emigya omulamuzi bwategezeza nti omusango gwokutta gwa nnagomola kuwozesebwa mu kkooti enkulu yokka

Ababaka bakudda mu kkooti nga 13, 2021 okusomerwa omusango gwabwe.