Amawulire

Ssegiriinya bamuyisizaako ekibaluwa

Ssegiriinya bamuyisizaako ekibaluwa

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road ayisizza ebibaruwa ebiyita, omubaka wa Kawempe North Mohammed Ssegirinya okulabikako omusango gwe gwokukuma omuliro mu bantu gugende mu maaso.

Omulamuzi Marion Mangeni yayisizza ebibaluwa ebimuyita, okweyanjula mu maaso ge nga 20 Okitobba 2021.

kino kidiridde nate Ssegiriinya obutalabikako mu kooti olwaleero, atenga abadde assubirwa era omulamuzi kwekumuyisaako ekibaluwa omulundi ogwokubiri.

Ssegirinya oludda oluwabi lugamba nti yakuma omuliro mu bantu, bweyatanula okubanja obuwanguzi bwa Robert Kyagulanyi mu kibuga wakai nga yakikola mungeri yokukuma omuliro mu bantu.

Oludda oluwaabi lugamba nti omusango yaguzza nga 22 mu March wa 2021 nga baamukwata ayingira mu Kikuubo awo ku Miniprice.

Ono yali wamau nebipande ebiwandikiddwako,” Free our Presidential victory” ngera baali babanja nabakulembeze b’ekibiina James Mubiru, Eddie Mutwe ne Nubian Lee bayimbulwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *