Amawulire

Sseduvutto e Iganga agombedwamu obwala

Sseduvutto e Iganga agombedwamu obwala

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omusajja ow’emyaka 70 mu disitulikiti y’e Iganga asimattuse okuttibwa abatuuze ku kyalo Mutkura mu munisipaali y’e Iganga abanyiize olw’ebigambibwa nti yakabasanya omwana omuto ow’emyaka 7.

Ono omukozi w’embaawo mu kitundu kino era kigambibwa nti yawadde omwana Shs200 naamusaba ayingire mu kisenge kye gyebamusoberezaako.

Kansala w’ekitundu kino Abasi Sajjabi eyatuuse mu budde yataasiza omusajja ono okuva ku batuuze ababadde bataamye obugo.

Kigambibwa nti nnyina womwana yabadde amusindise okumuddungira akagatoke eyo omusajja gyeyamukyusiriza obwongo.

Sajjabi asabye abazadde okwegendereza abaana wa gyebasindika abaana baabwe okwewala embeera ng’ezo.