Amawulire
Ssalongo omubbi bamugye mu keesi
Bya Sadat Mbogo
Abadde katemba mwereere nga police y’e Buwama mu district ey’e Mpigi ekukunula omubbi mu suitcase.
Katemba ono abadde wakati mu kabuga k’e Buwama police bw’ezinzeeko akazigo Ssaalongo Kafuuma Byekwaso mw’abadde asula ne family ye.
Kigambibwa nti Ssaalongo azze abba abantu mu kitundu ng’asinga kunyaga bya mu nju okuli TV, woofer, emifaliso n’ebirala nga bw’amala n’abitunda.
Mukyalawe Naalongo bw’ategedde nti bba ayiggibwa police, kwekumusonseka mu suitcase n’abikkako engoye okubuzaabuza, ebyembi police bw’ezze okwekebejja ennyumba, kumbe nga omukono gwa Ssaalongo gwerabiddwa ebweru.
Agombeddwamu obwala police ng’ekulembeddwamu ajikulira e Buwama Albert Natumanya era mu kaseera kano akuumibwa mu kaduukulu nga n’omusango gw’obubbi gumaze okumuggulibwako nga kati alinze kugasimbagana na mulamuzi yeewozeeko.