Amawulire

Ssalongo Lukwago azirise

Bernard Kateregga

June 20th, 2013

No comments

Lukwago being arrested

Loodi Mayor Salongo Erias Lukwago azirise amangu dala nga yaakalabikako maaso ga kakiiko ka KCCA akabadde kalina okutandika okumusoya ebibuuzo ku kwemulugunya kwaba kansala 17 abeemulugunya, nga baagala okumujamu obwesige.

Abaserikale baabukeerezza nkokola kwebungulula makaage e Wakaliga mu divisoni y’e Rubaga ne bamuziyiza okuvaayo nga bagamba nti batebuse enteekateeka ze ez’okukuba olukungaana mu katale k’ewa Kisekka.

Oluvanyuma poliisi emukkiriza okugenda ku kakwakulizo nti balina okumuwerekera aleme kubaako w’akyama kukyankalanya kibuga.

Bakulembeddwa akulira poliisi y’e Kampala mukadde Moses Gobola, alumirizza nti Lukwago abadde ayagala kubakuba bbusu agende mu katale k’ewa Kisekka akube olukungaana.

Lukwaago atwaaliddwa ku Case Clinic gyaali okujanjabibwa.