Amawulire

Ssabiiti yénsi yonna eyókuyonsa etandise leero

Ssabiiti yénsi yonna eyókuyonsa etandise leero

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2023

No comments

Bya Catherine Ageno,

Minisitule y’ebyobulamu ng’eri wamu n’ebanywanyi baayo olwaleero bagenda kutongoza wiiki y’okuyonsa mu nsi yonna.

Kino wekijjidde nga Uganda olwaleero yeegasse ku nsi yonna okukuza wiiki y’ensi yonna ey’okuyonsa abaana etandika okuva nga 1-7 August 2023 ne kigendererwa ekyokumanyisa abantu ku bukulu bw’okuyonsa eri bamaama n’abaana.

Wiiki y’ensi yonna ey’okuyonsa ey’omwaka guno egenda kujjukirwa wansi w’omulamwa ogugamba nti Okusobozesa okuyonsa: Okuleeta enjawulo eri abazadde abakola.’

Wiiki y’ensi yonna ey’okuyonsa ebeerawo mu wiiki esooka mu August buli mwaka, ng’ewagirwa WHO, UNICEF n’emikwano gya Minisitule y’ebyobulamu n’ebibiina by’obwannakyewa.

Okusinziira ku WHO, okuleka abakyala okuyonsa ku mulimu, kikola nyo era kiyambira ddala okukuza abaana beggwanga obulungi.