Amawulire

Ssabawandiisi wa UN akungubagidde Nnabakyala wa Bungereza

Ssabawandiisi wa UN akungubagidde Nnabakyala wa Bungereza

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obubaka obwókukungubaga bukyagenda mu maaso okuyiika oluvannyuma lwa Nnabagereka wa bungereza Elizabeth 11 okufa.

Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte António Guterres alaze ennaku ey’amaanyi olw’okufa kwa Kkwiini Elizabeth II.

Mu kiwandiiko kyafulumiza agamba nti omukulembeze wa Bungereza akyasinze okuwangaalira ku nnamulondo, Nnabagereka asiimibwa nnyo olw’ekisa kye, ekitiibwa kye, n’okwewaayo kwabadde alina ku lwensi yonna.

Guterres ayongerako nti kwiini abadde mpagi yamaanyi nyo mu myaka gyonna egy’enkyukakyuka ez’amaanyi, omuli Bungereza weyafunira amatwale okuli Afrika ne Asia n’enkulaakulana y’omukago gwa common wealth.

agambye nti Queen Elizabeth abadde mukwano gwa kibiina ky’Amawanga Amagatte ng’a yakyalako ku kitebe mu New York emirundi ebiri emyaka etaano egiyise.

Olubiri lwa Buckingham lwakakasizza nti  kwiini nga atemera mu gyobukulu 96 yafudde akawungeezi akayise oluvanyuma lwokunafuwa omubiri olwemyaka