Amawulire

Ssabawaabi wemisango alagidde okusaba kwa Kirumira kugobebwe

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Ssabawaabi wa gavumenti alagidde kooti ya Buganda Road  okugoba okusaba kwomusirikale wa poliisi eyali DPC we Buyende Muhammad Kirumira ayagala ayimbulwe ngawakanya ekyokuwozesebwa mu kooti ya poliisi ekwasisa empisa.

Akiridde wofiisi ya DDP nga ye muwaabi wa gavumenti ku kooti ya Buganda road Jonathan Muwaganya ategezeza nti mukama we amulagidde oksaba kwono kugobwe kubanga yaddukira mu kooti nkyamu.

Muwaganya ategezeza omulamuzi we ddala erisooka Robert Mukanza kooti ye terina buyinza kuwlira musango guno, ogwatwalibwayo Kirumira okuyita mu kitaawe Abubakar Kawooya.

Ekitongole ekiwaabi kigamba nti Kawooya yali atekeddwa okuddukira mu kooti ya poliisi yeemu.

Kirumira mu kaseera kano awozesebwa mu kooti ya poliisi ekwasisa empisa ngolunnaku lwe ggulo, yekanadazze nazibwayo e Nalufenya.