Amawulire

Ssabawaabi wa gavumenti ajuliidde mugwa Nyanzi

Ssabawaabi wa gavumenti ajuliidde mugwa Nyanzi

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita ataddeyo okujulira mu kooti enkulu, ngawakanya omulamuzi wa kooti ya Buganda Road eyejereza Dr. Stella Nyanzi omusango gwokunyiiza omukulembeze w egwanga Yoweri K. Museveni.

Kati DPP mu mpaaba ye gyataddeyo ayagala Dr Stella Nyanzi asingisbwe, omusano guno nga bweyasingisbwa omusango gwokukozesa obubi ebyuma bi kalimagezi.

Janet Kitimbo okuva mu wofiiis ya ssabawaabi wa gavumenti  agambye nti tebamatira ne nnamula yomulamuzi Gladys Kamasanyu kubanga baleeta obujulizi bwonna, obwetagisa ku musango guno, naye kirbika omulamuzi yabubuusa amaaso.

Kinajjukirwa nga 1 August Dr Nyanzi baamusindika mu nkomyo yebakeyo emyezi 18 waddenga bamutolerako emyezi 9 gyeyamala ku alimand mu kkomera e Luzira.