Amawulire

Ssabawaaabi wa gavumenti wakutwaliddwa mu kooti.

Ivan Ssenabulya

June 29th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

 

 

Abasajja abayisiramu 4 ababade bavunanibwa emisango egy’ekusa ku butemu n’obutujju bawandiikide omuwaabi wa gavument Mike Chibita nga baagala abetondere olw’okubasibira obwerere, ko n’okubasaako emisango emikambwe bwegityo, songa mungeri yeemu baagala abaliyirire.

Bano nga bakulembedwamu Sheikh Ismail Ssentongo, Muhammad Kalodo , Isa Mubiru ne Yusuf Ssentamu baali bakwatibwa wamu nakulira aba-Tabliq mu gwanga Sheikh Yunus Kamoga nga babala nga okwetaba  mukutta abakulembeze b’abayisiramu, kyoka bbo nebateebwa.

Bano okuteebwa baamala emyaka esatu mu makomera wakati mukutulugunyizibwa okutagambika, kyoka oluvanyuma omuwaabi wa gavument nagamba nti talina bujulizi bubalumikaera nebateebwa.

Kati bakyuukidde Chibita nga bagamba nti ono yabasibira bwemage natuuka n’okubasaako emisango gy’atalinaako bujulizi.

Kati bano bagamba nti beetaga okuliyirirwa kwa bukadde bwa doller 5M USD