Amawulire
Ssabasumba Kizito Lwanga avumiridde abatatana baanwe
Bya Ndaye Moses
Ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abantu bakomye, okwenyigira mu bikolwa ebitatana amannya ga banaabwe.
Ssabasumba abadde mu kitambiro kya mmisa gyayimbye ku Lutikko e Rubaga, nagamba nti abamu bakidde banaabwe okusanyawo ekitiibwa kyabwe, ekigwana okukoma.
Mu biralala avumiridde okusanyawo kwobutonde bwensi, ekiviriddeko okukosa abantu bangi.
Ategezeza nti awatali kubunya engiri eyemirembe egwanga lyakubaamu emirerembe ejitaggwa, kwekusaba abantu okusembeza Yesu owemirembe.