Amawulire

Ssabasumba Cyprian kizito Lwanga atabukidde gavumenti .

Ivan Ssenabulya

January 9th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba ne Ben Jumbe.

 

 

Ssabasumba wesaza ekulu elya kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga azeemu nakikaatiriza nga  bwewatali munadiini yenna alina kakuku ku government  bwekitandise okulagibwa.

Ssabasumba era nga y’akulira ekibiina ekya Inter-religious council  agambye nti waliwo abagufudde omuze okukola obwambega ku banadiini, ate nga by’ebazuula babigattamu ebyabwe , okukakana nga batadewo olukonko wakati wa government.

Ono agamba nti ediini wetadde omulaka kw’ekwogera amazima, kale nga abo abataagala kuwulira mazima  balowooza nti balumbibwa.

Ono agambye nti okuviira dala emabega nga amadini gawabula government ku nsonga ezitali zimu, kale nga okubakyukira mukadde kano kyewunyisa.