Amawulire

Ssabassajja asaasidde Juliana okuviibwaako mutabani we

Ali Mivule

July 24th, 2014

No comments

Juliana and sis

Ssabasajja Kabaka awerezza obubaka obukungubagira omugenzi Keron Kabugo mutabani wa Juliana Kanyomozi.

Abutisse Katikkiro Charles Peter Mayiga asaasidde bazadde b’omwana kyokka n’abasaba bagume kuba mukama y’asalawo.

Yye Jjajja w’omwana, Kabugo Misuseera agambye nti wabaddewo okusika omuguwa ku ky’okulwaawo okuziika omwana ono kyokka nga yamaze n’akkiriza asule ennaku bbiri mu maka ge kubanga bakadde be babadde bakolerera yye era nga babadde bagaala kumulabako okumala ebbanga eryo.

bbyo eby’okwerinda kasiggu ng’abantu tebakkirizibwa kutuuka wali mulambo ne Kamera era ng’okukeberebwa kwa maanyi.

Yye Maama w’omwana Juliana Kanyomozi alabise nga munafu ddala atuuse ku mukolo guno kawungeezi ng’awaniriddwa muganda we.

Tukitegeddeko nti Juliana amaze okuyiiya oluyimba lw’agenda okuyimbira mutabani we mu kkanisa olunaku lw’okutaano era nga luno lukubiddwaako ne mu kukungubaga e Bbunga