Amawulire
Ssabasajja wakugalawo empaka z’amaato g’amassaza
Bya prossy Kisakye, Olunaku olw’aleero Ssabasajja Kabaka wa buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye okulambula essaza lye ery’e Buddu ku bugenyi obw’ennaku 3
Bbo bannabuddu basuze babinuka masejere olw’omutanda okusiima okubalambulako, mu bifo gyagenda okuyitira bazimbye ebiyitirirwa, ne mbutu zivuga.
Omuteregga asuubirwa okutuuka ku ssaawa munana.
Ssabasajja wakugalawo empaka z’aMaato eza massaza e 18 aga buganda ez’omulundi ogw’okusatu ezigenda okubumbujira ku nabugabo sun beach e masaka.
Omuwanguzi w’empaka zino wakusitukira mu sseddume w’ente n’emidaali.
Mungeri yemu abawanguzi bakutwalibwa emitala w’amayanja babangulibwe mu kutaasa obulamu bw’abantu ku mazzi.
Essaza lye Kabula lye lyawangula mpaka za 2017.
Ssabasajja wakulambula n’abattaka be mu Buddu.