Amawulire

Ssabasajja Kabaka asiimye okuggulawo emipiira gyámasazza

Ssabasajja Kabaka asiimye okuggulawo emipiira gyámasazza

Ivan Ssenabulya

June 11th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabasajja akabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye okulabikako eri obuganda olunaku olwa leero mu kuggulawo empaka zómupiira gwe bika bya baganda mu ssaza lye erye Bulemeezi.

Empaka zino zigenda kugibwako akawuwo olunaku lwa leero ku kisaawe kya Kasana mu disitulikiti eyé Luweero, oluvanyuma lwokumala ebbanga lya myaka 2 nga tezizanyibwa olwe ggwanga okulumbibwa olunabe olwekirwadde kya Covid-19 ekyavaako omuk weggwanga okuwera enkungana ezábantu abangi.

Minisita wa Buganda avunanyizibwa kunsonga za bavubuka nókwewumuzamu owek Ssekabembe Kiberu akakasiza nti entekateeka zonna ziwedde omutanda okuggulawo empaka zino.

Akunze bannabulemeezi nábantu ba ssabasajja mu bitundu ebiriranyewo okujja mu bungi babugirire omutanda