Amawulire

Ssabasajja Kabaka asiimye emirimo gya Rotary mu Uganda.

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba.

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye mpisa n’obuntu bulamu ebyolesebwa aba Rotary mu uganda , naddala munkola yaabwe ey’emirimo, kko nemubulamu.

Bino Omutanda ebyogeredde mu tabamiruka w’abanna Rotary owe  93 atudde wano e Entebe.

Mukwogera Ssabasajja Kabaka agambye nti ekitundu kyona omuli abantu abatalina mpisa oba akafa nsonyi tekiyinza kukulakulana, kale kino bwekibula mu uganda  n’ebigendererwa byetulootako byandifuuka olufumo.

Omutanda anokodeyo ensonga gamba nga obuli bw’enguzi n’agamba nti buno bukosezza kinene okuza uganda e mabega, kale nga nebigendererwa gamba nga vision 2040 okubituukiriza kwandiba okuwonga.