Amawulire

Ssabasajja Kabaka abaliddwa,abayimbi bayise ku mugo

Ali Mivule

September 4th, 2014

No comments

Census

Nga ebula ennaku 2 okubala abantu kukomekerezebwe, Maama Nabagereka naye abaliddwa.

Okubala abantu kuyingidde olunaku lw’omusanvu nga ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri wowulira bino ng’amaze okubalibwa

Ababala bamusanze mu lubiri lwe E Banda.

Ono yegasse ku bakulembeze abalala abazze babalibwa omuli n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.

Bino nga biri biti, bbo abayimbi basatu bawonye akaduukulu oluvanyuma lw’okwesuulamu embazuulu nebagaana okubalibwa.

Bano okuli  Red Banton, Chagga ne  Phantom Lovin basoose kwetwaala nga ab’ekitalo okusinziira ku abadde agenze okubabala  David Kizito.

Ono ategezezza omusasi waffe Richard Luyombya nga bwasabye bassentebe b’ebyalo okubiyingiramu era olulabye poliisi olwo nebapondooka okubalibwa.

Bano babategeezezza nga okubalibwa bwekiri eky’etteeka olaba n’omunene waabwe Jose Chameleone yakkirizza okubalibwa ate bbo bebaani.

Ate Kampala y’ekyalina omuwendo gw’ababala abantu omunene nga basuddewo emirimu gyaabwe.

Omukwanaganya w’okubala abantu mu ggwanga  Paul Mungyereza, abasoba mu 100 baasuulawo emirimu ku lunaku olusooka.

Abasinga beemulugunya ku kusasulwa kikeerezi nga abalala beekwaasa kutambula ngendo mpanvu.

Wabula Mungyereza agamba baasobodde okuwandiisa abalala 80 emirimu obutazingama.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *