Amawulire

Ssabasajja e Bugerere- Mbuutu na ssanyu

Ali Mivule

January 27th, 2014

No comments

Kabaka waves

Wowulirira bino nga ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II atandise olugendo lwe okwolekera essaza lye erye Bugerere gyeyasiimye okulabikako.

Kyo ekiri e Kayunga kissa kinegula nga abayo balindiridde okukuba eriiso ku maaso moogi.

Embuutu z’ezivuga nga nabamu batandise dda okukongojja omumbejja Namaalwa.

Olunaku olwaleero ssabasajja Kabaka w Buganda Ronald Muwenda Mutebi II lw’atandika obugenyi bwe obwenaku 3 mu ssaza lye erye Bugerere mu district ye Kayunga.

Yye Minister w’ebyamawulire mu bwakabaka bwa Buganda  Denis Walusimbi agamba nti kabaka wakukola emikolo egy’enjawulo okuli okugema abaana, okusimba emiti okuggulawo amasomero n’ebirala bingi.

Ono asabye buli agenda okwaniriza beene okukuuma emirembe okwewala obuvuyo bwonna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *