Amawulire

Ssabasajja ayagaliza abasiramu Eid ennungi

Ssabasajja ayagaliza abasiramu Eid ennungi

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 ayozayozeza abayisiramu muggwanga okumalako ekisiibo kyómwezi omutukuvu ogwa Ramadan.

Mu bbaluwa gyatadeko omukono Kabaka musanyufu okulaba nti abasiramu baggumye ne basibira mu bugubi wakati mu kusomozebwa kwebyenfuna nókutyoboola eddembe lyobuntu ebiri mu ggwanga.

Abasabye wakati mu kusaala Iddi basabire eggwanga liveemu abantu ababi, ababbi béttaka né bintu byabwe.

Abasiramu basuubirwa okusaala Iddi-el fitr olunaku lwenkya ku Sunday singa omwezi guboneka, bwegutaboneka Iddi egyakuba yak u Bbalaza nga 2rd may.