Amawulire
Ssabasajja asiimye okuggulawo egyebika
Bya Shamim Nateebwa
Ssabasajja Kabaka asiimye okugulawo emipiira gy’ebika bya Baganda mumwezi gwomusavu nga 8,omwaka 2017 mu ssaza ly’e Kyaggwe.
Empaka zino zigenda kuggulwawo ku kisaawe ky’eggombolola y’e Nakisunga.
Omwami w’essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Alex Kigongo ategeezezza nti beetegefu okukyaza Kabaka era okuyoyoota ekisaawe kino kituukire bulungi ku mukolo kwatandise dda.
omumyuka wa ssentebe w’olukiiko olutegeka empaka zino, Hajj Yusuf Kamulegeya yye ategeezezza nti obululu bagenda kubukwata ku Lwokusatu June 7,2017 okufuna ebika ebinaggulawo empaka zino.
Omwaka oguwedde ogwa 2016 empaka zaggulibwawo mu ssaza ly’e Gomba wakati w’Emmamba Kakoboza nEnseneene ate ezaakamalirizo zaali mu ssaza ly’e Bugerere wakati wAbalangira nEnte era Ab’ente be baatwala engabo.