Amawulire

Ssabasajja asiimye ku baamukenenya

Ali Mivule

April 5th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Mengo  emalirizza enteekateeka y’okukolagana n’ekitongole kya Joint Clinical Research Centre okukebera abantu ba ssabasajja akawuka ka mukeneneya ku bwerere,

Ngatongoza kaweefube w’okusaasaanya obubaka obukwata ku kulwanyisa mukenenya e Bulange, Minisita w’ebyobulamu e Mengo Doctor  Ben Mukwaya asabye emikutu gy’amawulire okusitukiramu mu kaweefube ono.

Doctor  Mukwaya agamba kaweefube ono bakukolaganiira wamu n’abayimbi, Bannakatemba, Bodaboda, amasomero, mu butale, abavuzi b’ebimmotoka, abakinjaagi n’ebiwayi by’abantu ebirala okutuusa obubaka nga Kabaka bweyalagira.

Mu nteekateeka eno abantu bagenda kukungibwa mu kifo kimu ku lunaku olulirangirirwa bonna okusobola okwekebeza.

Kino kizze oluvannyuma lwa Kabaka okulondebwa ekibiina kyamawanga amagatte ekikola ku kulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya okumulonda nga Ambasada waakyo ku lukalu lwa Africa.