Amawulire

Ssabasajja Asasudde Ebbanja Lya Naalinnya

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja  asasudde ebbanja ery’obukadde 27 ezibadde zibanjibwa Nnaalinnya Beatrice Namikka eryamuzalidde leenya okutuuka okumusiba mu kkomera e Luzira era omumbejja ayimbuddwa.

Nnaalinnya Namikka yatwalidwa  mu kkomera e Luzira gye yasuze ekiro ekyakeesezza ku Olwokutaano ngabadde wakwebakayo emyezi egyiwera.

Nalinnya yavunaniddwa mu kkooti olwokulemererwa okusasula ensimbi ze yaggya ku bantu be yaguza ettaka erigamibwa okuba nti lyali lya mpewo.

Bawannyondo ba kkooti aba Waka Associates bakutte Nnaalinnya Beatrice Namikka ku Lwokuna nga besigama ku kiragiro kya kkooti.

Omwogezi wobwakabaka bwa Buganda Noah Kiyimba akakasizza ngebanja bweryasasuddwa.