Amawulire

Ssabasajja akwasiddwa ekizimbe Namulondo.

Ssabasajja akwasiddwa ekizimbe Namulondo.

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2018

No comments

Bya  Shamim Nateebwa

 

 

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11, ajjukiza Obuganda ku bukulu bw’ebyenjigiriza mu Buganda.

Ssabasajja okwogera bino abadde ku tendekero lya Buganda Royal Institute, nga akwasibwa ekizimbe ekyabuddwamu  ssekabaka Mulondo, nga bino by’ebimu ku birabo bya ssabasajja ebyamatikira gano aga jubilee.

Mukwogera Omutanda agambye nti amaanyi ga Buganda n’ebiseera eb’omumaaso bitudde mu by’enjiriza.

Mukusooka katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yasiimye ssaabasajja kabaka olw’okusiima n’ateeka amanyi mu kuzaawo eby’enjigiriza mu Buganda.

Kattikiro agambye nti Obwakabaka bwebwali bwakakomezebwawo, eby’enjigiriza mu gwanga lyonna byali wansi, nga nabantu tebalina ssuubi , wabula embeera kakano egenze ekyuka