Amawulire

Ssabasajja akunze obuganda ku bumu n’obulimi

Ali Mivule

August 18th, 2014

No comments

SSabassaja on the throne new

SSabasajja Kabaka akunze abaganda okubeera obumu mu kutuukiriza ebiruubirirwa bya Buganda.

Omutanda asiimye enteekateeka za Kamalabyonna n’ajjukiza abantu ku kalungi akali mu bulimi.

Asabye buli omu okufuba okulaba nti ebissibwa mu mbalirira ya Buganda tebikoma mu biwandiiko wabula bissibwe mu nkola.

Ssabasajja abadde aggulawo lukiiko lw’okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y’obwakabaka eyayanjibwa gyebuvuddeko