Amawulire
Ssabasajja agamba obuganda bwakusubwa nyo Ssabasumba Lwanga
Bya Prossy Kisakye,
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ayogedde ku mugenzi Dr Cyprian Kizito Lwanga,ngomusajja abadde ayagala enyo obwakabakabwe ne kikakye ekye Mamba clan.
Kabaka mu bubakabwe bwatise katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, mu kuziika Dr Lwanga, agambye nti tali mwerabira olwokwewaayo nalwanirira abatasobola kweranako nokulwanirira enfuga etambulira ku mateeka
Mungeri yemu Kabaka agambye nti Dr Lwanga mu kwagala enyo ssekabaka Muteesa 1 yazimba ekadiyizo nalibula mu ssekabaka era namuyita okuligulawo wabula afudde telinagulwawo wabula obuganda bwakulaba nti ligulwawo