Amawulire

Ssabaminita atongoza okugaba ensimbi za PDM

Ssabaminita atongoza okugaba ensimbi za PDM

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Ssaabaminisita Robinah Nabbanja olwaleero atongozza enkola y’okugaba ensimbi eri ebibiina by’obwegassi ebivunaanyizibwa ku kutereka n’okuwola ssente (SACCOs) wansi w’enteekateeka ya Parish Development Model (PDM).

Gavumenti yateekawo ssente ezisoba mu Shs kasse kamu okuziwola ebibiina bya SACCOs mu mwaka gwe byensimbi 2022/23.

Obuwumbi bwensimbi 80 zimaze okukwasibwa abakulembeze ba SACCO mu kibinja ekisooka ekya bantu 3,200.

Ssaabaminisita Robinah Nabbanja agamba nti mu mu kitundu ekisooka obukadde bwensimbi 25 buweerezeddwa buli SACCO erina ebisaanyizo era ensimbi zino zibadde zisaasaanyizibwa butereevu ku akawunti zabwe eza.

Aggumiza nti gavumenti egenderera okulaba nga buli maka gafuna ssente ezitakka wansi wa She20m buli mwaka mu bbanga eritali ly’ewala.