Amawulire

Ssabaminisita ayise akakiiko akalwanyisa Ebola batunule munsonga yábasawo

Ssabaminisita ayise akakiiko akalwanyisa Ebola batunule munsonga yábasawo

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssaabaminisita Robinnah Nabbanja era nga y’akulira akakiiko akavunaanyizibwa ku kulwanyisa Ebola mu ggwanga agamba nti akakiiko kano katuula akawungeezi ka leero okutunula mu kiteeso ky’Abasawo okuteekawo omuggalo oguva ku Ebola mu Kampala.

Kino kidiridde kuntandikwa ya wiiki eno, abasawo abali wansi w’ekibiina kyabwe ekibiina ekigatta ekya Uganda Medical Association okuteesa omuk. Weggwanga alangirire Omuggalo mu bwangu mu Kampala okusobola okufuga okusaasaana kw’ekirwadde kya Ebola mu Kampala.

Nabbanja agamba nti taskforce egenda kuwewa ekiteeso kya Basawo balabe ekidako.

Wabula asabye BannaKampala ne Bannayuganda okutwaliza awamu okwetwalira obuvunanyizibwa ku lwabwe okwekuuma obutakwatibwa bulwadde buno.