Amawulire

Ssabalamuzi yetondedde Ssabasajja

Ssabalamuzi yetondedde Ssabasajja

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Ssabalamuzi wegwanga, omulamuzi Alfonse Owiny Dollo yetondedde, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi kwebyo byeyaaogera nti Omutanda yatwalibwa mu gwanga lya Germany okujanajabibwa mu nnyonyi yobwa pulezidenti.

Bino yabyogerera ku lumbe lwomugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa Palamenti bweyali avumirira abaali bekalakaasa olwokutwala Oulanyaha mu America.

Dollo yagamba nti Ab-Baganda abamu balina emitima emibi kubanga Kabaka bweyatwalibwa okujanajabibwa ku ssente zomuwi womusolo tebakivumirira.

Abantu abenjawulo okuli ababaka ba palamenti bavaayo okuvumirira ebigambo bino, nti byali bisga obukyayi mu bantu era abamu babadde babanja nti alekulire.

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga naye mungeri yeemu yavaayo natangaaza nti Kabaka teyakozesa nnyonyi ya pulezidenti, naye yakozesa KLM Airlines eyamujja Entebbe okumutwala e Germany.

Wabula Ssabalamuzi Dollo akirizza nti yayogerera mu busungu era yali nsobi okwogera ebitali bituufu ku Kabaka.

Alino ebbaluwa gyewandiise nga yetondera obwakabaka bwa Buganda, olwebigambo bye ebitaali birungi.

Kati ebisingawo ku mboozi eno biri mu Daily Monitor wolunnaku lwaleero.