Amawulire
Ssabalamuzi y’enyamidde
Bya Prossy Kisakye,Ssabalamuzi Bart Katureebe avumiridde eneeyisa etaliya buntu bulamu eyaviriddeko okutyoboola ekitiibwa ky’omulamuzi wa kkooti y’okuluguudo Buganda Gladys Kamasanyu
Ku lw’okutaano lwa sabiiti ewedde ekibinja kya bavubuka baayita ku beby’okwerinda ne batandika okwonoona ebintu bya kkooti omwali n’okutataganya olutambi lwa vidiyo okwali ebiragibwa mu kkooti ne bimu ku bintu bya b’eby’okwerinda
Mufujjo eryakolebwa mwemwali n’okukuba omulamuzi w’eddaala erisooka Gladys Kamasanyu akacupa ka mazzi mu feesi bweyali asalira Dr. Stella Nyanzi ekibonerezo oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango ogw’okukozesa computer mu bukyamu.
Ssabalamuzi Katureebe asiimye obukakamu omulamuzi kamasanyu bweyayoleseza oluvanyuma lw’okutyobolebwa wabula nalaga obwenyamivu olwa bannauganda abasiwufu b’empisa
Kati asabye minisita ow’ebyamateeka okusosowaza eby’okwerinda bya balamuzi mu lukiiko lwa baminisita olugya.
Mungeri yemu ne kibiina kya bannamateeka ekya Uganda Law Society kivumiridde ekikolwa ekyakolebwa abavubuka ku mulamuzi Kamasanyu era pulezidenti waakyo Simon Peter Kinobe agamba nti wakulondoola ensonga eno okutuusa nga abakikoze bakangavulwa ng’amateeka bwegalagira.