Amawulire

Ssabalamuzi ne banne bakutekayo okwewozako kwabwe mu musango gwa Kisaakye

Ssabalamuzi ne banne bakutekayo okwewozako kwabwe mu musango gwa Kisaakye

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo nábalamuzi abalala 5 banatra okuteekayo okwewozaako kwabwe mu musango ogubavunanwa mulamuzi munnabwe owa kkooti ensukulumu Esther Kisakye.

Kisaakye yaloopa ssabalamuzi ne banne nga ayagala kkooti ebakugire okumumma ebyetaagisa mu kuwulira emisango gyalina okukwasaganya, okumulemesa okufuna omusaala ne nsimbi endala ezobusiimo nga tebagoberedde mateeka.

Mu mpaaba gyeyatwala mu kkooti ya Ssemateeka, Omulamuzi Kisaakye era ayagala likodi eraga nti abadde takyakola nga ali muluwumula nga talina lukusa lutongole esazibwemu aweebwe emirimu akomezebwewo ng’akulira enzirukanya y’emirimu mu kkooti ensukulumu.

Abalala abawawaabirwa wamu ne Owiny-Dollo ye Pius Bigirimana omuwandiisi ow’enkalakkalira mu kitongole ekiramuzi, Sarah Langa omuwandiisi wa kkooti z’ekitongole ekiramuzi, Apophia Tumwine kaminsona avunaanyizibwa ku bakozi, akakiiko k’ekitongole ekiramuzi aka Judicial service commission ne Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Ennaku 7 mwe bagenda okuteeka okwewozaako kwabwe ziyiseewo leero.