Amawulire

Ssabalamuzi atendereza omugenzi Kakuru

Ssabalamuzi atendereza omugenzi Kakuru

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo atenderezza omugenzi abadde omulamuzi wa kkooti ejulirwamu, Kenneth Kakuru, nga mmemba omukulu ku kkooti eno era omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu nategeeza nti bannauganda bakusubwa nyo obuweerezabwe.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu kkooti enkulu, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo abikudde ekyama nti omulamuzi Kakuru ow’emyaka 65 yafudde ku ssaawa nga 7:23 ez’oku makya mu ddwaaliro lya Aga Khan, e Nairobi gy’abadde aweereddwa ekitanda.

Agamba nti ebikwata ku nteekateeka y’okuziika bigenda kufulumizibwa mu bbanga ttono.

Amawulire getufunye galaga nti omulamuzi Kakuru abadde ne kirwadde kya kokolo wóbusajja ngáli ku stage ya kuna.

Olwembeera yobulwadde bwe yagezaako nokwagala okulekulira emirimu gye mu 2021.

Omulamuzi Kakuru yayatikirira nyo ne bamutuuma star judge mu musango gwekkomo ku myala omukulembeze weggwanga gyalina okufugira.

Kinajjukirwa nti mu musango guno Omulamuzi Kakuru, ku balamuzi batano yekka yatawagira gyakugyawo ekkomo ku myaka omukulembeze weggwanga gyalina okufugira.

Omulamuzi ajjukirwa ngomusajja abadde alwanirira obwenkanya.