Amawulire

Ssabalamuzi asabye obuwagizi eri ekitongole ekiramuzi

Ssabalamuzi asabye obuwagizi eri ekitongole ekiramuzi

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ssabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo asabye wabeewo enkyukakyuka mu ngabanya yensimbi ezisindikibwa mu kitongole ekiramuzi.

Bino abyogeredde mu mulukungana olukwata ku mbalirira ye ggwanga ku kisaawe e Kololo, Dollo agambye nti omulimu gwe kitongole ekiramuzi ku leetawo nkyukakyuka mu byembeera za bantu ne nkulakulakulana wabula olwokubulwa obuwagizi kino tebakigyeyo bulungi.

Ono agambye nti yadde nga gavt yabongeza ku nsimbi okutuuka ku bitundu 0.8% bakyetaaga obuwagizi okusobola okukola emirimu gyabwe obulungi.

Awadde eky’okulabirako nti mu kkooti eye byobusuubuzi waliyo emisango 6,000 nga gyetaaga shs 4.6tn.