Amawulire

Ssabalamuzi akiise e’mbuga

Ssabalamuzi akiise e’mbuga

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2022

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ssabalamuzi wegwanga Alfonso Owinye Dollo yetadde mu ddene olwaleero, nagenda ku mbuga y’obwakabaka bwa Buganda e Bulenge Mengo, okwetondera Ssabasajja Kabaka olwébigambo byeyayogera gyebuvuddeko.

Ssabalamuzi e Bulange yatuuse ku ssaawa 4 nékitundu ngawerekeddwako eyaliko pulezidenti wa UPC Olala Otunu, Ralph Ochan, Peter Okwera nabalala.

Abalala abetabye mu nsisinkano eno, kubaddeko banaddiini okuva mu kibiina ekitaba enzikiriza ekya Inter Religious Council of Uganda abakulembedwamu ssentebe waabwe Dr Samuel Kazimba Mugalu, omusumba wa Kiyinda Mityana Dr Joseph Anthony Zziwa Ssentebe wabepisikopi, omusumba Joshua Lwere, ssabalabirizi w’abadivent eyawumula Dr John Kakembo Ssensalire nabalala.

Ssabalamuzi ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga nómumyuka we Owek Dr Twaha Kawaase Kigongo, omukubiriza wólukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule ne minisita wémirimu gyénkizo Owek Daudi Mpanga.

Katikkiro oluvanyuma ayogeddeko ne bannamawulire ku by’ensisinkano eno, nebesogga akafubo.

Bishop Dr Joseph Anthony Zziwa yaasomye essaala egguddewo ensisinkano eno.