Amawulire

Ssabalamuzi agaanye okuva mugwa Kyagulanyi

Ssabalamuzi agaanye okuva mugwa Kyagulanyi

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2021

No comments

File Photo : ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo

Bya Ruth Anderah,

Ssabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo agaanye okuva mu kuwulira omusango gwe bye kulonda ogwawabwa senkagale we kibiina ki NUP Robert Kyagulanyi mwawakanyiza obuwanguzi bwa president Museveni mu kulonda okwaliwo nge nnaku zomwezi January 14th January.

Ono agamba nti okwemulugunya okumusaba okuva mu musango guno tekulina nsa

Kino kidiridde munnamateeka Male Mabirizi, okudukira mu kkooti nga awakanya ekya ssabalamuzi okuwulira omusango gwa kyagulanyi ogulimu Museveni ate nga Owinyi Dollo yaliko munnamateekawe mu musango gwe byokulonda ogwawabwa Dr Kizza Besigye mu 2006

Male era alumiriza nti Dollo aliko enkiiko ezekyama zaze yetabamu ne Museveni newankubadde nga kino Dollo agamba nti si kituufu

Wabula leero Dollo agaanye okuva mu musango guno era nategeeza nti mu bwangu wakubulira eggwanga ensonga emuganye okuva mu musango guno

Bino okubaawo ngólunaku lweggulo Kyagulanyi yalagidde bannamateekabe okugyayo omusango mu kkooti bweyategezeza nti tasubira ku funayo bwenkanya kuba abalamuzi bazinira kuntoli za gavumenti